Genesis 39:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Potifari bwe yakwasa Yozefu obuvunaanyizibwa ku nnyumba ye n'ebibye byonna, Omukama n'awa omukisa ennyumba y'Omumisiri olw'okubeera Yozefu. Omukisa gw'Omukama ne gubeera ku bintu bye byonna: eby'omu nnyumba n'eby'omu nnimiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva olwo Mukama n’awa omukisa ennyumba y’Omumisiri olwa Yusufu. Omukisa gwa Mukama ne guba ku byonna bye yalina, mu nnyumba ne mu nnimiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe yamala okumufuula omulabirizi w'ennyumba ye, era owa byonna bye yalina, Mukama n'alyoka agiwa omukisa ennyumba ey'Omumisiri ku bwa Yusufu; omukisa gwa Mukama ne guba ku byonna bye yalina, eby'omu nnyumba n'eby'omu nnimiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva olwo amaka g'Omumisiri n'ebibye byonna, bye yalina mu nnyumba ye, ne mu nnimiro ze, Mukama n'abiwa omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yamala okumufuula omulabirizi w'ennyumba ye, era owa byonna bye yalina, Mukama n'alyoka agiwa ennyumba ey'Omumisiri omukisa ku bwa Yusufu: omukisa gwa Mukama ne guba ku byonna bye yalina, eby'omu nnyumba n'eby'omu nnimiro.