Genesis 39:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Byonna bye yalina n'abireka mu mikono gya Yozefu, nga takyalina kirala kyonna kimweraliikiriza, mpozzi emmere gye yalyanga. Yozefu yali afaanana bulungi, nga mulungi mu ndabika;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Omumisiri n’ateeka byonna mu mikono gya Yusufu. Yusufu n’avunaanyizibwanga byonna okuggyako emmere mukama we gye yalyanga. Kyokka Yusufu yali mulungi nnyo, mubalagavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Potifaali n'aleka byonna bye yalina mu mukono gwa Yusufu; n'atamanya bintu bye byonna, okuggyako emmere gye yalyanga. Yusufu yali mulungi nnyo mu ndabika, n'amaaso ge nga gasanyusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Potifaari n'alekera Yosefu ebibye byonna okubirabiriranga, nga takyeraliikirira kintu kye na kimu, wabula emmere gye yalyanga. Yosefu yali mulungi mu ndabika, n'amaaso ge nga gasanyusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aleka byonna bye yalina mu mukono gwa Yusufu; n'atamanya kintu ekyali naye wabula emmere gye yalyanga. Era Yusufu yali mulungi, n'amaaso ge ga kusanyusa.