Genesis 39:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ebbanga teryayita ddene mukazi wa mukama we n'amwegomba, n'amusaba nti: “Weebake nange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ebbanga eriwerako, mukyala wa mukama we namutunuulira n’okwegomba era n’amugamba nti, “Weebake nange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omukazi wa mukama we n'atunuulira Yusufu; n'ayogera nti, “Weebake nange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe waayitawo ekiseera, muka mukama we n'amusuuliza amaaso, n'agamba nti: “Weebake nange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omukazi wa mukama we n’atunuulira Yusufu; n'ayogera nti Sula nange.