Genesis 39:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agaana. N'agamba muka mukama we nti: “Olaba okuva mukama wange byonna lwe yabissa mu mikono gyange, takyeraliikirira kantu mu nnyumba ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yusufu n’agaana, n’agamba mukazi wa mukama we nti, “Laba, mukama wange yankwasa byonna ebiri mu nnyumba, n’abiteeka byonna mu mikono gyange,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye n'agaana, n'agamba omukazi wa mukama we nti, “Laba, mukama wange tamanyi ebiri nange mu nnyumba, era yateeka byonna by'alina mu mukono gwange;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Yosefu n'agaana, n'agamba muka mukama we nti: “Laba, mukama wange takyeraliikirira kintu kye na kimu mu nnyumba, kubanga nze wendi, era yandekera ebibye byonna okubirabirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'agaana, n'agamba omukazi wa mukama we nti Laba, mukama wange tamanyi ebiri nange mu nnyumba, era yateeka byonna by'alina mu mukono gwange;