Genesis 39:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnyumba eno temuli ankira bukulu; tewali kirala kyonna ky'atassa mu mikono gyange okuggyako ggwe, kubanga ggwe oli mukazi we. Nze nnyinza ntya okukola ekibi ekyenkana awo, ne nnyonoona eri Katonda?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era tewali n’omu ansinga mu nnyumba ye, tewali na kimu ky’atankwasa okuggyako ggwe, kubanga ggwe oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okuyingira mu kwonoona okwenkanidde awo n’okusobya eri Katonda?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
tewali ansinga nze obukulu mu nnyumba muno; so teyasigaza kintu obutakimpa nze, wabula ggwe, kubanga oli mukazi we; kale nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n'okusobya ku Katonda?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnina obuyinza mu maka gano obwenkanankana n'obubwe, era talina ky'atankwasa okuggyako ggwe, kubanga oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okukola ekibi ekyenkanidde awo, ne nsobya eri Katonda?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
tewali ansinga nze obukulu mu nnyumba muno; so teyasigaza kintu obutakimpa nze wabula ggwe, kubanga oli mukazi we: kale nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n'okusobya ku Katonda?