Genesis 4:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja n'amanya Eva mukazi we; Eva n'afuna olubuto n'azaala Kayini, n'agamba nti: “Nfunye omusajja n'obuyambi bw'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Adamu n’amanya Kaawa, mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Kayini n’agamba nti, “ Mukama annyambye nzadde omuntu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Adamu ne yeegatta ne Kaawa mukazi we; Kaawa n'abeera olubuto, n'azaala Kayini, n'ayogera nti, “Mpeereddwa omusajja okuva eri Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Adamu ne yeegatta ne Haawa mukazi we, Haawa n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi, era n'agamba nti: “Mukama annyambye ne nzaala omwana ow'obulenzi.” N'amutuuma erinnya Kayini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Adamu n'amanya Kaawa mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Kayini, n'ayogera nti Mpeereddwa omusajja eri Mukama.