Genesis 4:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amugamba nti: “Okoze ki? Omusaayi gwa muganda wo gulaajanidde gye ndi nga guyima mu ttaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’amugamba nti, “Okoze ki? Eddoboozi ly’omusaayi gwa muganda wo oguyiyiddwa ku ttaka linkaabirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'amugamba nti, “Okoze ki? Omusaayi gwa muganda wo gunkaabirira nga gusinziira mu ttaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba nti: “Kiki kino ky'okoze? Omusaayi gwa muganda wo gunkaabirira nga gusinziira mu ttaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Okoze ki? Eddoboozi ly'omusaayi gwa muganda wo linkaabirira mu nsi.