Genesis 4:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno ovumiriddwa, ogobeddwa ku ttaka eryayasamye ne limira omusaayi gwa muganda wo nga liguggya mu mikono gyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne kaakano okolimiddwa, era ettaka lyasamye okumira omusaayi gwa muganda wo gwe wasse.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano okolimiddwa, kubanga osse mugandawo, era ensi eyasamizza akamwa kaayo n'ennywa omusaayi gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano okolimiddwa ku ttaka eryasamye, ne limira omusaayi gwa muganda wo gw'osse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kaakano okolimiddwa mu nsi, eyasamizza akamwa kaayo okuweebwa omusaayi gwa muganda wo mu mukono gwo;