Genesis 4:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'onoolimanga, ettaka teriikubalizenga bibala byalyo; ku nsi onoobanga mubungeese.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’onoolimanga ettaka teriikuwenga bibala byalyo; onoobanga momboze ku nsi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva kaakano bw'on'olimanga ettaka, teribazenga mmere, era onoobanga mmomboze era omutambuze mu nsi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva kati, bw'onoolimanga ettaka, teriikubalizenga bibala mu bugimu bwalyo. Onoobanga mmomboze era mubungeese mu nsi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'onoolimanga ensi, okuva kaakano teekuwenga maanyi gaayo; mu nsi onoobanga mmomboze era omutambuze.