Genesis 4:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuuno olwa leero ongobye ku ttaka, nzija kukisibwa amaaso go, era ne mu nsi nnaabanga mubungeese era emmomboze. Buli alinsanga, alitta bussi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, ongobye okuva ku nsi ne mu maaso go; era nnaabanga momboze ne buli anandaba ananzita.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ongobye mu maaso go, sikyalina bukuumi bwo, nfuuse mmomboze era omutambuze mu nsi; na buli anandabanga ananzitanga bussi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ettaka olinzigyeko, era ongobye mu maaso go, nfuuse mmomboze era mubungeese mu nsi, era buli andaba, alinzita bussi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ongobye leero mu maaso g'ensi; era mu maaso go mwe nneekwekanga; era nnaabanga mmomboze era omutambuze mu nsi; awo olulituuka buli alindaba, alinzita.