Genesis 4:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amugamba nti: “Si bwe kijja okuba n'akatono; wabula, buli yenna alitta Kayini, aliwoolerwako eggwanga emirundi musanvu.” Omukama n'assa akabonero ku Kayini, buli yenna amusanga, aleme kumutta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’amugamba nti, “Nedda si bwe kiri. Buli alitta Kayini ndimuwalana emirundi musanvu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'amugamba nti, “Buli alitta Kayini aliwoolerwako eggwanga emirundi musanvu.” Mukama n'ateeka ku Kayini akabonero, buli anaamulabanga alemenga okumutta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'amugamba nti: “Nedda. Buli alitta Kayini, aliwoolerwako eggwanga emirundi musanvu.” Awo Mukama n'ateeka ku Kayini akabonero, buli amulaba aleme okumutta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'amugamba nti Buli alitta Kayini kyaliva awalanwa eggwanga emirundi omusanvu. Mukama n'ateeka ku Kayini akabonero buli amulaba alemenga okumutta.