Genesis 4:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kayini yamanya mukazi we, n'abeera olubuto, n'azaala Enoki. Yali azimba ekibuga, kwe kukituuma erinnya lya mutabani we Enoki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kayini n’amanya mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Enoka. Kayini n’azimba ekibuga n’akituuma erinnya lyerimu erya mutabani we Enoka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kayini ne yeegatta ne mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Enoka. Kayini n'azimba ekibuga, n'akituuma Enoka ng'erinnya ly'omwana we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kayini ne yeegatta ne mukazi we, mukazi we n'aba olubuto, n'azaala Enoka. Kayini n'azimba ekibuga, n'akituuma erinnya ly'omwana we Enoka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kayini n'amanya mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Enoka: n'azimba ekibuga, n'akituuma Enoka ng'erinnya ly'omwana we.