Genesis 4:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayongera n'azaala Abeli muganda wa Kayini. Abeli yali mulunzi wa ndiga, Kayini ye nga mulimi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma n’azaala muganda we Aberi. Aberi n’aba mulunzi, ye Kayini n’abeera mulimi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate n'azaala muganda we Abeeri. Abeeri n'aba mulunzi wa ndiga, naye Kayini n'aba mulimi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluvannyuma n'azzaako omwana omulala ow'obulenzi, Abeeli. Abeeli oyo n'aba mulunzi wa ndiga, naye Kayini n'aba mulimi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate n'azaala muganda we Abiri. Abiri n'aba musumba wa ndiga, naye Kayini n'aba mulimi wa ttaka.