Genesis 4:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lameki n'agamba bakazi be nti: “Ada ne Zilla, muwulire eddoboozi lyange, bakazi ba Lameki, muwulirize ebigambo byange: Natta omusajja olw'ekiwundu kye yanteekako, omuvubuka olw'obuvune bwe yanzisaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lameka n’agamba bakazi be nti, “Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange; mwe bakazi ba Lameka, muwulirize kye ŋŋamba; nzise omusajja olw’okunfumita, nga muvubuka, olw’okunkuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lameka n'agamba bakazi be nti, “Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange; Mmwe abakazi ba Lameka, muwulire ekigambo kyange; Kubanga n'atta omusajja kubanga yanfumita nze, Era omuvubuka kubanga yambetenta nze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lameka n'agamba bakazi be nti: “Bakazi bange mwenna Ada ne Ziila, muwulire kye ŋŋamba. Natta omusajja eyanfumita, era omuvubuka eyankuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lameka n'agamba bakazi be nti Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange: Mmwe abakazi ba Lameka, muwulire ekigambo kyange: Kubanga natta omusajja kubanga yanfumita nze, Era omuvubuka kubanga yambetenta nze: