Genesis 4:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Adamu n'addamu n'amanya mukazi we, n'azaala omwana mulenzi; yamutuuma Seti, ng'agamba nti: “Katonda anteereddewo ezzadde eddala mu kifo kya Abeli; kubanga Kayini yamutta.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Adamu n’amanya mukazi we, n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Seezi, kubanga yayogera nti, “Katonda ampadde omwana omulala mu kifo kya Aberi, Kayini gwe yatta.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Adamu ne yeegatta ne mukazi we nate; n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya lye Seezi; eritegeeza nti, “Katonda ampadde omwana omulala okudda mu kifo kya Abeeri, Kayini gwe yatta.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Adamu ne yeegatta ne mukazi we nate, mukazi we n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Seeti, ng'agamba nti: “Katonda ampadde omwana omulala okudda mu kifo kya Abeeli, Kayini gwe yatta.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Adamu n'amanya nate mukazi we; n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Seezi: Kubanga Katonda yandagiririra ezzadde eddala okudda mu kifo kya Abiri; kubanga Kayini yamutta.