Genesis 4:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Seti n'afuna omwana wa bulenzi, n'amutuuma Enosi. Mu bbanga eryo abantu we baatandikira okukoowoola erinnya ly'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Seezi n’azaala omwana owoobulenzi n’amutuuma Enosi. Mu kiseera ekyo abantu ne batandika okukoowoola erinnya lya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Seezi naye n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya lye Enosi; mu kiseera ekyo abantu mwe batandikira okukoowoola erinnya lya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Seeti naye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Enosi. Mu biro ebyo, abantu we baasookera okusinzanga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Seezi naye n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya lye Enosi: mu biro ebyo mwe baasookera okusabanga erinnya lya Mukama.