Genesis 4:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga wayiseewo ebbanga, Kayini n'aleeta ebimu ku bibala eby'omu ttaka okuweereza Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n’alyoka aleeta ebibala by’ebimera ebyava mu ttaka okubiwaayo eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n'aleeta ku bibala bye yakungula okubiwaayo eri Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe waayitawo ekiseera, Kayini n'aleeta ku bibala bye yalima, okubiwaayo eri Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n'alyoka aleeta ebibala by'ettaka okubiwaayo eri Katonda.