Genesis 4:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Omukama teyasanyukira Kayini n'ekitone kye. Kayini n'asunguwala nnyo, n'anakuwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye teyasiima Kayini wadde ekiweebwayo kye. Awo Kayini n’asunguwala nnyo, n’endabika y’amaaso ge n’ewaanyisibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye Mukama n'atasiima Kayini ne ky'awaddeyo. Kayini n'asunguwala nnyo, n'atunula bubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye n'atasiima Kayini ne ky'awaddeyo. Kayini n'asunguwala nnyo, era n'atunula bubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Kayini ne ky'awaddeyo teyamukkiriza. Kayini n'asunguwala nnyo, amaaso ge ne goonooneka.