Genesis 4:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Kayini nti: “Lwaki osunguwadde? Lwaki onakuwadde?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’abuuza Kayini nti, “Osunguwalidde ki? Era n’endabika y’amaaso go lwaki ewaanyisiddwa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Kayini nti, “Kiki ekikusunguwaza? Era kiki ekikutunuza obubi bw'otyo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Kayini nti: “Kiki ekikusunguwaza? Era kiki ekikutunuza obubi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Kayini, nti Kiki ekikusunguwaza? era kiki ekikwonoonesa amaaso go?