Genesis 4:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'onooba okoze bulungi toosiimibwe? Naye kati okoze bubi; ekibi kyebakiridde ku mulyango, kyegomba okukwezza, naye ggwe wandikifuze.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’onookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bw’otokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Singa okoze ekintu ekirungi, tewandisiimiddwa? Naye kubanga okoze bubi, ekibi kiri ku luggi lwo; kyagala okukufuga, naye ggwe oteekwa okukiwangula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa okola ekirungi, tewandisiimiddwa? Naye bw'okola ekibi, ekibi kibeera ku luggi lwo. Kyagala okukufuga, naye ggwe oteekwa okukiwangula.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'onookolanga obulungi, tokkirizibwenga? Bw'otokola bulungi, ekibi kituula ku luggi: n'okwegomba kwe kunaabanga eri ggwe, naawe onoomufuganga.