Genesis 4:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu Kayini n'agamba Abeli muganda we nti: “Tugendeko mu nnimiro.” Baali bali eyo mu nnimiro, Kayini n'agwira Abeli muganda we n'amutta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kayini n’agamba Aberi muganda we nti, “Tulageko mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini n’agolokokera ku muganda we Aberi, n’amutta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kayini n'ayogera ne Abeeri muganda we n'amugamba nti, “Tugende mu nnimiro.” Awo bwe baali nga bali mu nnimiro, Kayini n'alyoka agolokokera ku Abeeri muganda we n'amutta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kayini n'agamba Abeeli muganda we nti: “Tugende mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro, Kayini ne yeefuulira muganda we, n'amutta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kayini n'ayogera ne Abiri muganda we. Awo bwe baali nga bali mu nnimiro, Kayini n'alyoka agolokokera ku Abiri muganda we n'amutta.