Genesis 40:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabadde nkutte ekikopo kya Faraawo nga nnoga emizabbibu ne nkamulira mu kikopo ne nkiweereza Faraawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga nkute ekikopo kya Falaawo mu ngalo zange, ne nzirira zabbibu ne nzikamulira mu kikopo kya Falaawo, ne nkimukwasa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ekikompe kya Falaawo kibadde mu mukono gwange; ne nzirira ezabbibu, ne nzikamulira mu kikompe kya Falaawo, ne mpaayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nabadde nkutte ekikopo kya kabaka mu ngalo zange, ne nzirira emizabbibu, ne ngikamulira mu kikopo kya kabaka, ne nkimukwasa mu ngalo ze.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ekikompe kya Falaawo kibadde mu mukono gwange; ne nzirira ezabbibu, ne nzikamulira mu kikompe kya Falaawo, ne mpaayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo.