Genesis 40:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ssatu Faraawo ajja kukuta akuzze mu kifo kye waliko, oddemu okussanga ekikopo kya Faraawo mu ngalo ze mu ngeri ye emu nga bwe wakolanga mu kusooka ng'okyali musenero we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mu nnaku ssatu Falaawo alikuggya mu kkomera n’akuzza mu kifo kyo, era olimukwasa ekikopo nga bwe wakolanga edda ng’oli musenero we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nnaku ssatu, Falaawo ajja kukusumulula okuva mu kkomera akuddize obwami bwo; era onoowangayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo, nga bwe wakolanga edda ng'okyali omusenero we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nnaku ssatu kabaka ajja kukuddiza obukulu bwo, akuzzeeyo mu bwami bwo olyoke omukwasenga ekikopo mu ngalo ze, nga bwe wakolanga edda, bwe wali omusenero we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
walibaawo nate ennaku ssatu Falaawo n'alyoka agulumiza omutwe gwo n'akukomyawo mu bwami bwo: era onoowangayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo, ng'empisa bwe yali edda bwe wali omusenero we.