Genesis 40:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga mu nsi y'Abeebureeyi nabbibwayo bubbibwa, n'okuba sikolanga kintu kyonna kinsaanyiza kubeera mu nkomyo muno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ddala naggyibwa buggyibwa mu nsi y’Abaebulaniya; ate na wano sirina kye nakola kinsaanyiza kuteekebwa mu kkomera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga mazima nnanyagibwa mu nsi ey'Abaebbulaniya; era ne kuno sikolanga kibi ekyandibanteesezza mu kkomera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ddala nanyagibwa mu nsi y'Abebureeyi, era ne kuno sikolanga kintu na kimu ekyandibanteesezza mu kkomera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga amazima nanyagibwa mu nsi ey'Abaebbulaniya: era ne kuno sikolanga kigambo ekyandibanteesezza mu kkomera.