Genesis 40:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukulu w'abafumbiro, bwe yalaba ng'ekirooto akivvuunudde bulungi, n'agamba Yozefu nti: “Nange naloose: nabadde nettise ebisero bisatu eby'emigaati ku mutwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukulu w’abafumbi ba Falaawo bwe yalaba ng’amakulu g’ekirooto ky’oli gaali malungi, n’agamba Yusufu nti, “Nange naloose ekirooto: nga neetisse ku mutwe ebibbo by’emigaati bisatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omufumbiro omukulu bwe yalaba ng'amakulu malungi, n'agamba Yusufu nti, “Nange nnaloose ekirooto, nga netisse ebibbo bisatu ku mutwe ebirimu emigaati,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omufumbiro omukulu bwe yalaba ng'amakulu g'ekirooto ekyo malungi, n'agamba Yosefu nti: “Nange naloose ekirooto. Nabadde neetisse ku mutwe gwange ebibbo bisatu ebirimu emigaati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omufumbiro omukulu bwe yalaba ng'amakulu malungi, n'agamba Yusufu nti Nange mbadde mu kirooto kyange, era, laba, ebibbo ebisatu ebibaddemu emmere enjeru ne biba ku mutwe gwange: