Genesis 40:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kisero ekimu ekisookera ddala waggulu nga mulimu buli kika kya mmere ya Faraawo ekifumbibwa mu butta. Naye ebinyonyi obwedda bijja ne bigiriira mu kisero ku mutwe gwange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kibbo ekyokusatu mwabaddemu buli ngeri ya mmere enjokye eya Falaawo. Kyokka ng’ennyonyi zigiriira ku mutwe gwange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne mu kibbo ekya waggulu mwabaddemu emigaati gya Falaawo egy'ebika eby'enjawulo; ennyonyi ne zigiriira mu kibbo ku mutwe gwange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kibbo ekya waggulu mwabaddemu emigaati egya buli ngeri, nga gya kabaka. Ennyonyi ne zigiriira mu kibbo ku mutwe gwange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne mu kibbo ekya waggulu mubaddemu engeri zonna ez’emmere enjokye eza Falaawo; ennyonyi ne ziziriira mu kibbo ku mutwe gwange.