Genesis 40:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ssatu Faraawo ajja kukuggya mu kkomera, akuwanike ku kalabba, ebinyonyi bikusojjogoleko ennyama yo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bwe wanaayitawo ennaku ssatu Falaawo ajja kukutemako omutwe, akuwanike ku muti, omulambo gwo guliibwe ebinyonyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nnaku ssatu, Falaawo ajja kukusumulula okuva mu kkomera akuwanike ku muti, n'ennyonyi zirirya omulambo gwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kabaka ajja kukuggyako obukulu bwo, akusibemu omuguwa mu bulago, akuwanike ku muti, ofe, era ennyonyi zijja kulya omulambo gwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
walibaawo nate ennaku ssatu Falaawo n'alyoka agulumiza omutwe gwo okuva ku ggwe, era alikuwanika ku muti; n'ennyonyi zirirya ennyama yo okugiggya ku ggwe.