Genesis 40:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga wayise ssatu Faraawo n'akuza amazaalibwa ge, n'akolera abakungu be embaga nnene. N'ata omukulu w'abasenero n'omukulu w'abafumbiro mu maaso g'abakungu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwokusatu, lwali lunaku lwa mazaalibwa ga Falaawo, n’akolera abaweereza be bonna embaga, n’atumya omusenero n’omukulu w’abafumbi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, lwe lunaku Falaawo lwe yazaalibwako, n'afumbira abaddu be bonna embaga; n'asumulula omusenero omukulu n'omufumbiro omukulu okuva mu kkomera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwokusatu, olwali olw'amazaalibwa ga kabaka, kabaka n'agabula abaweereza be bonna embaga. Omusenero omukulu n'omufumbiro omukulu n'abaddiza obukulu bwabwe mu maaso g'abaweereza be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu, lwe lunaku Falaawo lwe yazaalibwako, n'afumbira abaddu be bonna embaga; n'agulumiza omutwe gw'omusenero omukulu n'omutwe gw'omufumbiro omukulu mu baddu be.