Genesis 40:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukulu w'abakuumi n'abakwasa Yozefu; n'akolanga ku byetaago byabwe. Ne bamala akabanga nga basibe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukulu w’ekkomera n’abawa Yusufu okubakuuma, n’abalabirira, ne babeera mu kkomera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukulu w'abambowa n'abakwasa Yusufu, okubaweereza; ne bamalayo ekiseera kiwanvu nga basibiddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukulu w'abaserikale abakuuma olubiri n'alonda Yosefu okubaweereza. Ne bamalayo ekiseera nga basibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukulu w'abambowa n'abateresa Yusufu, n'abaweereza: ne bamalayo ekiseera nga basibiddwa.