Genesis 40:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu bombi, omukulu w'abasenero n'omukulu w'abafumbiro ba kabaka w'e Misiri abaali basibiddwa mu kkomera, ne baloota ebirooto mu kiro kimu naye nga buli kimu kirina amakulu gaakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekiro kimu omusenero n’omukulu wa bafumbi aba kabaka w’e Misiri abaali mu kkomera ne baloota, buli omu ekirooto kye, era nga buli kimu kirina amakulu gaakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kiro ekimu, nga bali eyo mu kkomera, omusenero n'omufumbiro wa kabaka w'Emisiri, buli omu n'aloota ekirooto kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiro ekimu, eyo mu kkomera, omusenero n'omufumbiro wa kabaka w'e Misiri, buli omu n'aloota ekirooto, nga buli kirooto kya makulu maawufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baloota ekirooto bombi, buli muntu ekirooto kye mu kiro kimu, buli muntu ng'amakulu g'ekirooto kye bwe gali, omusenero n'omufumbiro wa kabaka w'e Misiri, abaasibibwa mu kkomera.