Genesis 40:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abuuza abakungu ba Faraawo abaali naye mu kkomera mu nnyumba ya mukama we nti: “Lwaki mutunuza nnaku olwa leero?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka abuuza abakungu ba Falaawo abaali naye mu kkomera, mu nnyumba ya mukama waabwe nti, “Lwaki leero mulabika nga mweraliikiridde?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abuuza abaami ba Falaawo abaasibirwa awamu naye mu nnyumba ya mukama we nti, “Kiki ekibanakuwazizza bwe kityo leero.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abuuza abakungu ba kabaka abo abaasibirwa awamu naye mu nnyumba ya mukama we, nti: “Kiki ekibeeraliikirizza bwe mutyo olwaleero?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abuuza abaami ba Falaawo abaasibirwa awamu naye mu nnyumba ya mukama we, ng'ayogera nti Kiki ekinakuwazizza bwe kityo amaaso gammwe leero?