Genesis 40:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamwanukula nti: “Twafunye ebirooto naye tewali abituvvuunulira.” Yozefu n'abagamba nti: “Okuvvuunula si kya Katonda? Munnyumize.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Twaloose ebirooto, naye tewali wa kubivvuunula.” Awo Yusufu n’abagamba nti, “Katonda y’abivvuunula. Kale mbasaba mubimbuulire.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamugamba nti, “Tuloose ekirooto, so tewali ayinza okututegeeza amakulu gaakyo.” Yusufu n'abagamba nti, “Okutegeeza amakulu si kwa Katonda? Mukimbuulire, mbeegayiridde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamuddamu nti: “Buli omu ku ffe yaloose ekirooto, naye tewannabaawo ayinza kuvvuunula makulu ga birooto ebyo.” Yosefu n'agamba nti: “Katonda si ye asobozesa abantu okuvvuunula ebirooto? Kale mumbuulire ebirooto ebyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamugamba nti Tuloose ekirooto, so siwali ayinza okutegeeza amakulu gaakyo. Yusufu n'abagamba nti Okutegeeza amakulu si kwa Katonda? mukimbuulire, mbeegayiridde.