Genesis 41:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twaloota mu kiro kimu ebirooto buli omu, nga buli kirooto kirina amakulu gaakyo ku akiroose.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ekiro kimu omukulu wa bafumbi nange twaloota ebirooto, nga buli kimu kirina amakulu ga njawulo ku kinnaakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ffembi ne tuloota ebirooto mu kiro kimu, ng'ekirooto kya buli omu kirina amakulu ag'enjawulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
twaloota ebirooto mu kiro ekimu, ng'ekirooto kya buli omu kya makulu maawufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne tuloota ekirooto mu kiro kimu nze naye; twaloota buli muntu ng'amakulu g'ekirooto kye bwe gali.