Genesis 41:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waaliyo eyo omulenzi Omwebureeyi omuweereza w'omukulu w'abakuumi, bwe twamunyumiza ebirooto byaffe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ffe mwalimu omuvubuka Omwebbulaniya nga muddu wa mukulu w’abambowa; bwe twamutegeeza nannyonnyola buli omu ekirooto kye nga bwe kyali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe twali mu kkomera, twali n'omulenzi Omwebbulaniya, omuddu ow'omukulu w'abambowa; ne tumubuulira ebirooto byaffe, era n'atuvvuunulira amakulu gaabyo; yategeeza buli muntu ng'ekirooto kye bwe kyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awamu naffe, waaliyo omulenzi Omwebureeyi, omuddu w'omukulu w'abaserikale abakuumi b'olubiri. Ne tumubuulira ebirooto byaffe, n'atuvvuunulira amakulu gaabyo, ng'ekirooto kya buli omu bwe kyali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yaliyo wamu naffe omulenzi, Omwebbulaniya, omuddu ow'omukulu w'abambowa; ne tumubuulira, n'atutegeeza amakulu g'ebirooto byaffe; yategeeza buli muntu ng'ekirooto kye bwe kyali.