Genesis 41:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abivvuunula, buli omu n'amuwa amakulu g'ekirooto kye. Byonna byatuukirira nga bwe yavvuunula: nze nazzibwa ku mulimu gwange, ate oli n'awanikibwa ku kalabba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe yatunnyonnyola era bwe kityo bwe kyali; nze nazzibwa ku mulimu gwange, ye omufumbiro, n’awanikibwa ku muti.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne biba bwe bityo nga bweyabituvvuunulira; nze nnazzibwa ku bwami bwange, n'oli n'awanikibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne biba bwe bityo nga bwe yabituvvuunulira. Nze wanziza mu bwami bwange, naye omufumbiro omukulu wamusiba omuguwa mu bulago, n'omuwanika ku muti n'afa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, nga bwe yatutegeeza, ne kiba bwe kityo; nze yanziza mu bwami, n'oyo yamuwanika.