Genesis 41:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabaka n'atumya Yozefu, n'aggyibwa bunnambiro mu kkomera, n'amwa enviiri, n'akyusa ebyambalo, n'ajja mu maaso ga Faraawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Falaawo n’atumya baleete Yusufu, ne bamuleeta mangu okumuggya mu kkomera. Bwe yamala okumwebwa omutwe n’okukyusa engoye ze, n’ajja mu maaso ga Falaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'alyoka atumya Yusufu, ne bamuggya mangu mu kkomera; bwe yamala okwemwa, n'okukyusa ebyambalo bye, n'agenda eri Falaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'atumya Yosefu, ne bamuggya mangu mu kkomera. Yosefu bwe yamala okwemwa, n'akyusa ebyambalo bye, n'ajja eri kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo n'alyoka atuma n’ayita Yusufu, ne bamuggya mangu mu kkomera: n'amwa, n'awaanyisa ebyambalo bye, n’ayingira eri Falaawo.