Genesis 41:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo n'amugamba nti: “Naloose ekirooto, naye tewali akinzivuunulira. Naye mpulidde nti ggwe bw'owulira ekirooto, okivvuunula.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Naloose ekirooto, naye tewali n’omu ayinza kukivvuunula.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'agamba Yusufu nti, “Nnaloota ekirooto, so tewali ayinza okuvvuunula amakulu gaakyo; era mpulidde nga bakwogerako nti oyinza okuvvuunula amakulu g'ekirooto bw'oba okiwulidde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'amugamba nti: “Naloose ekirooto, era tewannabaawo ayinza kuvvuunula makulu gaakyo. Mpulidde nga bakwogerako nti oyinza okuvvuunula ebirooto.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo n'agamba Yusufu nti Naloota ekirooto, so siwali ayinza okutegeeza amakulu gaakyo: era mpulidde nga boogera ku ggwe ng'oyinza okutegeeza amakulu g'ekirooto bw'okiwulira.