Genesis 41:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu n'amwanukula nti: “Si nze, wabula Katonda y'anaayanukula Faraawo mu ngeri eneemusanyusa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yusufu n’addamu Falaawo nti, “Si nze nzija okukikola, wabula Katonda y’anaabuulira Falaawo amakulu gaakyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'addamu Falaawo, ng'ayogera nti, “Si nze; naye Katonda y'anaawa Falaawo okuvvuunula okulungi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'addamu kabaka nti: “Si nze, naye Katonda ye anaakuwa, ayi Kabaka, okuvvuunula okulungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'addamu Falaawo, ng'ayogera nti Si mu nze: Katonda y'anaawa Falaawo okuddamu okw'emirembe.