Genesis 41:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe zaamaze okulya, nga kizibu okugamba nti ziriko kye ziridde; zaasigadde zitunula bubi nga bwe zaabadde mu kusooka. Ne nsisimuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye bwe zamaze okuzirya nga toyinza na kutegeera nti ziziridde, kubanga nga nkovvu nga bwe zaabadde olubereberye. Awo ne ndyoka nzuukuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe zaamala okuzirya omuntu nga tayinza kutegeera nti ziziridde kubanga zaasigala nkovvu nga bwe zaali olubereberye. Awo ne nzuukuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe zaamaze okuzirya, omuntu yabadde tayinza kumanya nti ziziridde, kubanga zaasigadde nkovvu nga bwe zaabadde mu kusooka. Awo ne nzuukuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo bwe zaamala okuzirya ne kitategeerekeka nga ziziridde; naye nga zikyali mbi ng'olubereberye. Awo ne nzuukuka.