Genesis 41:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yozefu n'agamba Faraawo nti: “Ebirooto bya kabaka biri ekintu kimu: Katonda abuulidde Faraawo ky'agenda okukola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yusufu n’agamba Falaawo nti, “Ekirooto kya Falaawo kiri kimu: Katonda alaze Falaawo ky’agenda okukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yusufu n'agamba Falaawo nti, “Ekirooto kyo kiri kimu; Katonda akutegeezezza by'agenda okukola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu n'agamba kabaka nti: “Ebirooto byo, ayi kabaka, birina amakulu ge gamu. Katonda akutegeezezza by'agenda okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yusufu n'agamba Falaawo nti Ekirooto kya Falaawo kiri kimu: Katonda by'agenda okukola, yabibuulira Falaawo.