Genesis 41:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ente omusanvu enkovvu, embi, ezaddiridde ziri okuvaayo zitegeeza emyaka musanvu; n'ebirimba omusanvu ebirerya, ebikaze empewo y'ebuvanjuba, gye myaka musanvu egy'enjala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ente omusanvu embi enkovvu ezajja oluvannyuma, gy’emyaka musanvu, n’ebirimba omusanvu ebikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba gy’emyaka omusanvu egy’enjala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ente omusanvu (7) enkovvu, embi ezaaziddirira gye myaka omusanvu (7), era n'ebirimba omusanvu (7) ebitaliimu mpeke ebibabuddwa empewo eziva mu ddungu gye giriba emyaka omusanvu (7) egy'enjala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ente omusanvu enkovvu era embi, ezaddirira ziri ezaasooka, era n'ebirimba omusanvu ebitaliimu mpeke, era ebibabuliddwa empewo eziva mu ddungu, egyo myaka musanvu egy'enjala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ente omusanvu enkovvu embi ezaaziddirira gye myaka omusanvu, era n'ebirimba omusanvu ebitaliimu ebikaze n'empewo ez'ebuvanjuba; egyo giriba myaka omusanvu egy'enjala.