Genesis 41:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
egyo giriddirirwa emyaka musanvu emirala egy'enjala eryerabiza n'ekyengera wonna mu Misiri. Enjala ejja kusaanyaawo ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye oluvannyuma lwagyo waliddawo emyaka musanvu egy’enjala eryerabiza ekyengera mu nsi yonna ey’e Misiri; enjala eribuna ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lwagyo waliddawo emyaka musanvu (7) egy'enjala; n'ekyengera kyonna kiryerabirwa mu nsi ey'e Misiri; n'enjala erizikiriza ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Egyo nga giyiseewo, walibeerawo emyaka musanvu egy'enjala. N'ekyengera kyonna kiryerabirwa mu nsi y'e Misiri, era enjala erizikiriza ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oluvannyuma lw'egyo giribaawo emyaka musanvu egy'enjala; n'ekyengera kyonna kiryerabirwa mu nsi ey'e Misiri; n'enjala erizikiriza ensi;