Genesis 41:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekirooto kyaddiddwamu Faraawo emirundi ebiri okutegeeza nti Katonda amaze okusalirawo ddala ekintu kino, era ajja kukituukiriza mangu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekirooto kya Falaawo kyekivudde kiddiŋŋanwa, kitegeeza nti ekintu Katonda akikakasa era ajja kukituukiriza mangu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekirooto kya Falaawo kye kyava kiddibwamu emirundi ebiri, kubanga Katonda yali anyweza ekigambo kye, era ng'alikituukiriza mangu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekirooto okuba eky'emirundi ebiri, kitegeeza nti Katonda anywezezza ekigambo ekyo, era ajja kukituukiriza mangu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kubanga ekirooto kyayongererwa Falaawo emirundi ebiri, kyekyava kyongerwa kubanga ekigambo kinywezebwa Katonda, era Katonda alikituukiriza mangu.