Genesis 41:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno Faraawo yanditaddewo omusajja omutegeevu, ate omugezi, amuwe okulabirira Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale kaakano Falaawo alonde omusajja omukalabakalaba era ow’amagezi amuwe obuvunaanyizibwa ku nsi yonna ey’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno kaakano Falaawo anoonye omusajja omukalabakalaba era ow'amagezi, amuwe okufuga ensi ey'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale nno kaakano, ayi kabaka, wandironze omusajja omujagujagu era ow'amagezi, omuwe okufuga ensi ey'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno kaakano Falaawo anoonye omusajja omukabakaba ow'amagezi, amuwe okufuga ensi ey'e Misiri.