Genesis 41:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakuŋŋaanye eŋŋano yonna mu myaka omusanvu egy'ekyengera, etuumibwe mu bibuga ng'emmere nga Faraawo y'agirinako obuyinza, bagikuume;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakuŋŋaanye emmere eyo mu myaka egijja egy’ekyengera, bazimbe ebyagi ebinene mu buli kibuga bagikuŋŋaanyize omwo olw’ekiragiro kya Falaawo, bagikuume.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bakuŋŋaanye emmere yonna ey'emyaka gino emirungi egijja, batereke eŋŋaano mu bibuga, mu mukono gwa Falaawo, bagikuume.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era obalagire bakuŋŋaanye emmere mu myaka egyo emirungi egijja, batereke eŋŋaano mu bibuga, era bagikuume.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bakuŋŋaanye emmere yonna ey'emyaka gino emirungi egijja, baterekere eŋŋaano mu bibuga mu mukono gwa Falaawo, bagikuume.