Genesis 41:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emmere eno yanditeereddwa mu mawanika ku lw'obulungi bw'eggwanga, yeeyambisibwe mu myaka egy'enjala eneegwa mu Misiri, eggwanga bwe lityo lireme kuzikirira olw'ebbula ly'emmere.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emmere eyo eriterekebwa olw’enjala eriba mu nsi okumalako emyaka omusanvu egy’enjala erigwa mu Misiri yonna; ensi ereme okuzikirizibwa enjala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'emmere eyo eriterekebwa olw'emyaka omusanvu (7) egy'enjala egiribaawo eriba eggwanika mu nsi ey'e Misiri; abantu baleme okufa enjala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emmere eyo, ye eriba ey'okwekuumisa mu ggwanga, mu myaka omusanvu egy'enjala eribaawo mu nsi ey'e Misiri, edduukirire abantu, baleme okufa enjala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'emmere eyo eriba eggwanika ery'ensi olw'emyaka omusanvu egy'enjala, egiribaawo mu nsi ey'e Misiri; ensi ereme okufa enjala.