Genesis 41:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Faraawo n'agamba Yozefu nti: “Kubanga Katonda akwolese bino byonna, teri mulala akwenkana butegeevu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Katonda nga bw’akulaze bino byonna, tewali mulala mukalabakalaba, omugezi okukwenkana ggwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'agamba Yusufu nti, “Kubanga Katonda akulaze ebyo byonna, tewali mukalabakalaba era ow'amagezi nga ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'agamba Yosefu nti: “Nga Katonda bw'akulaze ebyo byonna, tewali n'omu mujagujagu, era wa magezi nga ggwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo n'agamba Yusufu nti Kubanga Katonda akulaze cbyo byonna, tewali mukabakaba era ow'amagezi nga ggwe: