Genesis 41:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe onookulira ennyumba yange, abantu bange bonna ba kukugonderanga; nze nnaakusinzanga ku kitiibwa lwa nnamulondo eno yokka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gw’onoofuganga olubiri lwange, era abantu bange banaakolanga kyonna ky’onoobalagiranga; wabula nze kabaka n’abanga waggulu wo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe onoofuganga ensi yange, era n'abantu bange bonna banaakuwuliranga; kyokka nze nzekka, nze nnaakusinganga obukulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe onoofuganga ensi yange, era abantu bange bonna banaawuliranga by'olagira. Nze nzekka, nze nnaakusinganga okuba n'obuyinza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
gw'olifuga ennyumba yange, era ng'ekigambo kyo bwe kiri abantu bange bonna banaafugibwanga: naye kyokka mu ntebe yange nze naakusinganga ggwe obukulu.