Genesis 41:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'anaanula empeta ku mukono gwe n'aginaanika ku mukono gwa Yozefu; n'amwambaza ebyambalo ekyabafuta, n'amussa omukuufu ogwa zaabu mu bulago.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo Falaawo n’alyoka aggya empeta ku ngalo ye n’aginaanika Yusufu, n’amwambaza ekyambalo ekya linena omulungi, n’omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo ne yeenaanula empeta ye ey'akabonero ku ngalo ye, n'aginaanika Yusufu ku ngalo ye, n'amwambaza ebyambalo ebya bafuta ennungi, n'ateeka omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka ne yeenaanula ku ngalo empeta ye eriko akabonero k'obwakabaka, n'aginaanika Yosefu ku ngalo, n'amwambaza ekyambalo eky'olugoye olulungi, era n'amwambaza mu bulago omukuufu ogwa zaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo ne yeenaanula empeta ye ey'akabonero ku ngalo ye, n'anaanika Yusufu ku ngalo ye, n'amwambaza ebyambalo ebya bafuta ennungi, n'ateeka omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe.