Genesis 41:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amutuuza ku kigaali kye mu kifo ekimuddirira, nga waliwo akulemberamu ng'agenda aleekaana nti: “Mukole ekkubo.” Bw'atyo n'amuwa obuvunaanyizibwa ku nsi yonna ey'e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amuwa n’okutambuliranga mu ggaali lye eriddirira mu kitiibwa ng’erya Falaawo mwe yatambuliranga. Bonna ne bavuunama mu maaso ga Yusufu nga bwe bagamba nti, “Muvuuname.” Bw’atyo Falaawo n’amuteekawo okufuga ensi yonna ey’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amutambuliza mu ggaali eryokubiri lye yalina; ne balangirira mu maaso ge nti, “Mufukamire.” Falaawo n'awa Yusufu okufuga ensi yonna ey'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amuwa eggaali ye eyookubiri kw'aba atambulira, ne balangirira mu maaso ge nti: “Mufukamire.” Bw'atyo kabaka n'awa Yosefu okufuganga ensi yonna ey'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amutambuliza mu ggaali ery'okubiri lye yalina; ne balangira mu maaso ge nti Mufukamire: n'amuwa okufuga ensi yonna ey'e Misiri.